ffume clan

English French German Italian Portuguese Russian Spanish

Ekika kyeffumbe kilina ettaka lingi nyo mubifo ebyenjawulo mu Buganda Ne Uganda ettaka lyo butaka lisangibwa Bakka Busiro wakiso district.Liri ku bugazi bwa sq miles 1.5.
Neddala Elugala, Bulange Mmengo ,Gganda, Nannsana, Gayaza, Lwanga, Masaka, etc. Olwe mbeera yo byobufuzi eyajawo obwakabaka enkozesa yetaka lyaffe yakyuka abantu ne batandika okwesenza ku takka lyaffe nga tebafunye lukusa kuve mukika yensonga lwaki twatandisewo Ffumbe Land Committe.

BACKGROUD.
Eno committe yevunanyizibwa ku kulondola ettaka lyonna elye kika kyeffumbe era nokulaba nga ettaka lyaffe lyonna welili livamu ensimbi ezisobola okuyamba ku nzilukanya ye mirimu mu kika kyaffe nokwongera okufuba okulaba nga ba members be kika bagabira ekika kyabwe ettaka.

Objectives.

  • Okwekenenya obusenze bwa bantu abesenza ku ttakka lyaffe wonna mu Gwanga.
  • Okukakasa no kugana abasenze abapya nabakadde abali ku ttakka lyaffe.
  • Okuwandiisa abasenze bonna abali ku Ttaka lyaffe.
  • Okumanya obugazi bw bibanja abasenze bwebalina ku ttaka lyaffe.
  • Okusolooza envujo/obusulu okuva ku basenza ababera bakakasidwa
  • Okusooloza ensimbi ezokwewandiisa ku Ttaka lye kika.
  • Okugaba liizi eri abasenze abazata.
  • Okulabilira no kukuma ebifo byonna ebyenono ebibela biri ku Ttaka lyafe.
  • Okunonya no kuzula ettaka lyonna elyekika je liri
  • Okukubiriza abazukulu obutetundako ttaka wabula bagabe liizi.
  • Okutegeka emisomo egiyigiliza abazukulu engeri je basobola okugaba liizi ku ttaka lyabwe.
  • Okukakasa nti ebyapa byekika byonna bikumubwa bulungi ate nelitalina byapa okufuba okulaba nga bifunibwa.
  • Okulaba nga ettaka lyaffe litekebwako projects eze nkulakulana mu kiika.
  • Okulaba nga ebyobugaga ebyomutaka ebili mu ttaka lyaffe bikumibwa butilibiri abantu abalala omutabikozesa nga tetubawadde lukusa ie Amayinja, Omusenyu, Emiti nebirara.

Goal;
Okulaba nga Ettaka lyonna weliri elyekika kyeffumbe likumibwa bulungi ate nga libeera lyamugaso eri abazukkulu bonna abedira Effumbe, no kulaba nga to kubiliza abazukulu okwongera okuwa ekika ettaka.

Benefits/Beneficaries.

  1. Ekika kijja kusobola okufuna ensimbi nga kiyita mu kusaba abasenze ensimbi ezokukakasa obusenze bwabwe.
  2. Ekika kijja kufuna ensimbi mu nvujo ne busulu ebiva eri abasenze abakakasidwa ku ttaka lyaffe.
  3. Ekika kigenda kufuna ensimbi okuva mu Liizi nga zibwewa abasenze ku ttaka lyaffe.
  4. Ekika kigenda kufuna ensimbi okuva mubyobugaga obwomuttakka nga Amayinja ,Omusenyu kubanga ebyo binji  nnyo Ebbaka.
  5. Ekika kija kufuna ensimbi nga abasenze bakyusa obusenze bwabwe okudda mu bantu abalala. Abasenze abalina enkulakulana bajja kusobola okujikola kasita nanyina takka anabera nga abakakasiza.
  6. Ebyalo okuli ettakka lyaffe bijja kufuna enkulakulana kubanga ettaka lyaffe tugenda kulikolerangako projects ezenkulakulana.

Ffumbe Clan Photo Gallery

Advertise with Ffumbe Clan