ffume clan

English French German Italian Portuguese Russian Spanish

Ffumbe clan kye kimu ku bika ebisinga obukulu mu bwakabaka bwa buganda era omukulu wakyo yakola kinene nyo kukutandikawo kwo bwakabaka bwa buganda obutaka bwaffe obukulu buli Bakka buli ku bugazi bwa sq1.5 era nga awo we wali the oldest shrine in east and central africa.Awo mu shrine eyo jjaja ffe mweyasabira nga katonda wamu nabaganda abalara.

Ku ttaka lyaffe kuliko ebintu ebyomuwendo bingi ebyobuwangwa ,ebyobulambuzi ne ebyewunyisa omuntu yenna byeyandiyagadde okulabako nga tanaffa , enyumba LWATAMU omutula olukiko lwa bakulu bebika bonna 52 mu Buganda nga olukiiko olwo chairman walwo ye Omutaka walusimbi omukulu we kika kyaffe. 
Naye tukizudde nti ebyobuwangwa bye kika,buganda , nobwakabaka obutuliranye ebisinga bigenda bidibizibwa kyetuvudde tusalawo nga tukozesa obutaka bwaffe okutandikawo ekuqqaniro lye bintu byonna ebyobuwangwa ebyekika kyaffe, Buganda, Bunyolo. Busoga, Ankole, alur ,Toro . Project eno ejja kubeera ku Bugazi bwa ecres 100.

Objectives.

  • Okulaba nga Ebyobuwangwa byaffe ebya Buganda, Toro, Busoga, Ankole ,Bunyolo, nabala bikumibwa butilibiri abaana nabazukulu basobole okubirabako namaso gabwe nga ate bili mu kifo kimu.
  • Okukwongera okukuma ekitibwa kye byobuwangwa byaffe ebibadde bidibizidwa .
  • Okulaga abantu ebilungi ebili mu byowuwangwa nga tu bigelageranya no mulembe ogwaleero.
  • Okunyikiza abantu empisa no bulombolombo ebyo buwangwa byabwe ate era no kubalaga omugaso gwabyo eri enkulakulana yo muntu.
  • Okusobola okukuma ebintu ebyo muwendo bajaja ffe byebakozesanka in safe custody bisobole okulabilwako buli omu.

Benefits & beneficiaries.

  • Tujja kusobola okuzawo ekitibwa kya mawanga gaffe bajaja ffe kyebazimba nga bakozesa enono ne byobuwangwa.
  • Okuzaawo empisa ne neyisa eyabajjaja enungu.
  • Tujja kuwa abantu be kitundu emilimu nabantu abenjawulo abanaba balina okumanya okwenjawulo eri empisa ,enono ne byobuwanga bye bitundu ebyenjawulo mu Uganda.
  • Ekika kijja kuffuna ensimbi eri abalambuzi era nokwongera okugaziya ebyenfuna byakyo wamu no kwongera okutunda ekika kyaffe eri ensi yonna.
  • Government ejja kusobola okufuna ensimbi okuva eli abalambuzi kubanga tusubira nti kijja kubeera ebimu ku bifo omuntu byalina okusooka okulaba nga tanava mu uganda.

Ffumbe Clan Photo Gallery

Advertise with Ffumbe Clan