ffume clan

English French German Italian Portuguese Russian Spanish

Nabwami SarahNazalibwa nga 22/09/1964 e Kawanda Research Centre Dispensary,Taata anzala ,Omugenzi Haj Ibrahim Ssetimba agalamidde mu Kilwazza Bulemeezi.

Ndi Muzzukulu wa Abdulai Dibba,ndi muzzukulu wa Sirimani Sebirumbu ,Nva mu nju ya Sirimani Ssebirumbi,nva mu luggya lwa Alamanzani Mulwazza mu kilwazza,nva mu lunyiriri lwa Mukasa Musaazi, nva mu Mutuba gwa Nsobya e Bakka Busiro,nva mu Mutuba omukulu ogwa Ssabalangira Kasolo e Bbakka Busiro. Awo ntuka buterevu ewa Jajja Omutaka Walusimbi Yusufu Mbirozankya Kigumba Makubuya II wakati mu kasolya k’Ekika ky’eFfumbe.
Ndi mukyala nekolera gyange era nkolera Nakasero mu UNIGA COMPANY tutunda Tiles n’ebikozesebwa munnyumba, mufumbiro nemubinabiro.

Nkubiriza abaana Abawala abeddira eFfumbe okwagala ennyo ekika kyaabwe n’okuwagira enkulakulana za Jajjaffe Walusimbi.

Ffumbe Clan Photo Gallery

Advertise with Ffumbe Clan