ffume clan

English French German Italian Portuguese Russian Spanish

HAJJI LUBWAMA MUSOKEZirannumbu walusimbi owo musavu(7) ye mwana wa Lweggula Walusimbi owo mukaaga (6).Enda ye yeri ku Bwawalusimbi .
Abaana be beyazaala be balangira ab'Emituba mu Luggya lwa Walusimbi era Omulangira omukulu mu bo ye kasolo y'abatuusa ku kitabwe Kigumba Walusimbi e Bakka . Mubalangira ba kasolo, mwe mulondebwa anaasikira Obwawalusimbi.

Ennyimbe zaabwe bwe ziba zanjulwa ewa Ssabataka ziyitibwa nti za wakati mu kasolya k'Ekika kY'Effumbe. Emituba egyo gyonna gyemalirira obukulu bwago obugulimu.Omutuba Omukulu ogwa Ssabalangira kasolo mwe muva asikira Obwawalusimbi, Nnaku, Kakonge Nandekererwa , ne Kiwukyeru.
Tewali mutuba mulala gusikira bukulu obwo wadde okusumika. Evaayo lubuga n'abakuza .Era mutuba gwa Ssabalangira Kasolo mu Nyiriri zino ennya (4) mwe muva obukulu obwo wagulu. Zezino;

(a) Olunyiriri Lwa Mulyammamba
(b) Olunyiriri Lwa Muguluma Kkangawo
(c) Olunyiriri Lwa Mbirozanya
(d) Olunyiriri Lwa SSekuwuuma.

Ssabalangira Kasolo alina banganda be ab'emituba 15 Enyiriri 120:

 • Omutuba Gwa Kasolo wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Wankoko Ekiromo Bulamba wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Nakinsige e Zzirannumbu wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Ddenzibbi Sekatuba Kabamba munge Bulamba Bulemeezi wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Wakifumbe e Ziranuumbu Kyaddondo wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Sserukweya e Kawumu wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Nsobya e Bakka wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Kigozi Guwaatudde e Gganda Busiro wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Ssozi Ssekizimu mu Busiro wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Ssetimba e Kiwawu mu Busujju wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Musalennyooka e Bbaale mu Busiro wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Muguluma Walusimbi e Gganda mu Busiro wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Kiyonga walusimbi e Ziranumbu wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Kirimaanyi Byoto e Bakka mu Busiro wamu ne Nyiriri zagwo.
 • Omutuba Gwa Makubuya e Bakka mu Busiro wamu ne Nyiriri zagwo

Ffumbe Clan Photo Gallery

Advertise with Ffumbe Clan