ffume clan

English French German Italian Portuguese Russian Spanish
  • .
  • Ffumbe Clan
    Ffumbe Clan

    Our clan is among the five (5) original clans which  started up the Buganda Kingdom origin.

  • Environment Protection through Tree planting projects
    Environment Protection through Tree planting projects
  • Supporting Orphans, Elderly and Disabled
    Supporting Orphans, Elderly and Disabled
  • Bbaka Busiro
    Bbaka Busiro

    Bbaka Busiro, twenty three (23) kilometers along Kampala-Hoima road

Omutaka Walusimbi - Head of Ffumbe Clan

Sooma kubikwata ku Mutaka Walusimbi mukika kye Ffumbe.. More

Welcome to Ffumbe Clan

Ffumbe Clan is one the buganda clans which make up the Buganda Kingdom and it is also among the five (5) original clans which  started up the Buganda Kingdom origin.

Its origin home is situated in Bbaka Busiro, twenty three (23) kilometers along Kampala-Hoima road.
Ffumbe Clan administration and leadership is carried out at the Clan head offices along Kabakanjagala Road, near the Buganda Kingdom headquarters Bulange, Mengo Kyadondo County in Kampala District.

Ffumbe Clan Head is legend Walusimbi Ntege Buganda and its succession is hereditary. Walusimbi Ntege Buganda heads and administers the clan with assistance of his sons (Abamasiga), Ssabalangira Kasolo, Nnakku and the legend grandfather; Kakonge Nandekerwa. The whole Ffumbe Clan is estimated to over One million five hundred thousands (1,500,000) of clan members (Grand sons and daughters). Read more...

OMUKOLO GWO KWALULA ABAANA.

Okwalula abaana  gwe mukolo ogukolebwa okukakasa abaana mu kika. Gukolebwa Ekiseera kyonna ,naye bwe wabaawo abaana abatali baalule nga waliwo n'okwabya olumbe,okufumbiza,oba okuwasa ,omukolo gw'okwalula gwe gusooka eggulolimu,kubanga n'omusika yennyini atekwa okuba nga yayalulwa ,oba ayalulwe ,alyoke asike. Okuva edda n'edda n;okutuusa kaakati empisa eno ey'okwalulwa essibwako essira kubanga ke kabonero akalaga n'okukakasa omuntu Oweekika Kyeffumbe.

EMBAGA Y'OKWALULA

Ssenga W'abaana atwala bakaabanyina mu lusaalu ne basala omunnyo Omuganda ,ne bagwokya,ne bagugeneka , ne baguteeka mu butiko obubaala ne mu nkejje ebyalula abaana temuteekebwamu munnyo mulala gwonna.

Abakyala basala empombo bbiri, olw'obutiko n'olw'enkejje basala ne ttete ery'okusasira mu ddiro we banaayalulira.Bwe bamala okulisalira , bakaamwana (bamaama b'abaana) baalira olubugo mu ddiiro, olugulibwa babbaabwe ne baleeta amazzi, omuzigo omuganda, ne batuula nga balannamywe era nga buli omu aleze abaanabe. Awo jajja w'abaana ayiwa amazzi mu kibbo.(kirukibwa bamaama b'abaana), n'asaba bakabaana obulira bw'abaana baabwe abagenda okwalulwa . Buli kamu akateekako omuzigo n'akasuula mu mazzi mu kibbo ne kabbira n'oluvannyuma kabbulukuka.

Akalira bwe katabbulukuka ng'omwana oyo bamutankana. Naye bwe kadda waggulu, abaliwo bonna basannyuka n'okukuba emizira nti "YI-yi-yi-yi.." Awo jajja w'abaana bonna , atandika okubanaaza kinnomu nga batudde ku mibiri gya bamaama baabwe ,n'abasiiga n'omuzigo . Bwe bamala , anaaza ne bakaabaana be mu maaso n'ebigere era nabo n'a basiiga omuzigo  Omuganda.

Bw'amala atandika okufunya ku lubugo bakaamwana kwe batudde nga bw'abasuna batere baluveeko alwetwalire
.Bino by'ebigambo by'ayimba mu luyimba nga bw'azingako olubugo."Ekikuekivunduvundukyekiziikaomuliro". Ebigambo ebyo abidiqqana okutuusa olubugo bw'alutwala,n'ebintu byonna ebibadde bikozesebwa.  Oluvannyuma abaana batuumibwa amannya amabbule, oba ag'ekika,

Bakaabaana bajjula emmere eyafumbiddwa olw'omukolo,( amatooke, nga kuliko n'empogola, empombo ez'enkejje
n'obutiko), Omuwumbo guno gubeeramu omunwe gwe mbidde wakati. Basoosootola emmere era n'eriibwa abantu
bonna ababeerawo. Bamaama b'abaana bakoleza abantu mu mpombo.Bwe bamala okulya abantu bonna bafuluma
Bataata b'abaana abaaba baliwo babuuka bakazi baabwe (nga batudde era nga balannamye. 

Kano ke kalombolombo akamaliriza omukolo ogw'okwalula abaana. Omukyala yenna abeera  n'omwana atali mwalule mu kika kyeffumbe, kyokka nga yava mu kika kyeffumbe n'azaala awalala, ye tatuula ku lubugo nga baalula abaana be Abeffumbe. Mugandawe atalina mwana y'akola omukolo ogwo. Abakyala abazaala mu kika Kyeffumbe banaakuuma obulira bw'abaana baabwe olw'omukolo ogwo, era buli mwana ayalulwa aweebwe erinnya ly'ekika kye Ffumbe.

OKUFUGIKA.

Jajja w'abaana ayawula obulira obw'abaana abawala era n'ayawula n'obw'abaana abalenzi . Jajjabwe asima ekinnya wakati mu ddiiro ekyekulungirivu, n'azinga abaana abalenzi mu lubugo luli,n'alyoka abassa mu kinnya n'abikkako olugyo. Assaako ettaaka n'alikomerera.Bw'atyo era bw'akola n'abaana abawala, okuggyako nti bo bafugikibwa ku ludda olwakkono olw'eddiiro, so si wakati nga ku balenzi. Mu biseera bino, abalenzi babafugika ku kitooke kya mbidde, ate abawala ku kitooke ekya nkago (Ekikazi)

Upcoming Activities

No events

Latests News

Buganda Queen asks IPU delegates to hold their governments accountable

The Nnabagereka of Buganda, Lady Sylvia Nagginda, has asked parliamentarians att... Read more

Ffumbe Clan Members Respond to Luwalo Lwaffe Program, Visit Bulange

In response to Katikkiro Mayiga’s Luwalo Lwaffe program, which tasks Bagan... Read more

Ffumbe Clan Photo Gallery

Advertise with Ffumbe Clan